1 Timothy 6:6-10

6 aWeewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina. 7 bKubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. 8 cNaye bwe tuba n’emmere, n’ebyokwambala ebyo bitumalenga. 9 dAbo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. 10 eKubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.

Copyright information for LugEEEE